Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Engeri gy’Oyinza Okuba ow’Omukwano Omulungi

Engeri gy’Oyinza Okuba ow’Omukwano Omulungi

Bw’okiraba nti mukwano gwo aweddemu amaanyi, mubudeebude era muzzeemu amaanyi (1Sa 20:1, 2; w19.11 lup. 7 ¶18)

Labula mukwano gwo bwe wabaawo akabi akamwolekedde (1Sa 20:12, 13; w08 2/15 lup. 8 ¶7)

Lwanirira mukwano gwo abalala bwe bamwogerako eby’obulimba (1Sa 20:30-32; w09 10/15 lup. 19 ¶11)

Abantu ba Yakuwa balina emikisa mingi okufuna emikwano emirungi. Okusobola okufuna emikwano emirungi, olina okuba ow’omukwano omulungi. Ani gwe wandyagadde okufuula mukwano gwo mu kibiina?