Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Mikwano Gyo ku Intaneeti Be Baani?

Mikwano Gyo ku Intaneeti Be Baani?

Ow’omukwano ye muntu gw’oyagala ennyo era gw’ofaako. Ng’ekyokulabirako, Dawudi ne Yonasaani baafuuka ba mukwano nnyo oluvannyuma lwa Dawudi okutta Goliyaasi. (1Sa 18:1) Buli omu ku bo yalina engeri ennungi munne ze yali ayagala. N’olwekyo okuba mukwano gw’omuntu owa nnamaddala, kyesigamye ku kuba nti omumanyi bulungi. Okumanya obulungi omuntu omulala kyetaagisa okufuba era kitwala ekiseera. Kyokka ku mikutu emigattabantu, abantu basobola okweyita ab’emikwano oluvannyuma lw’okumanyagana okumala akaseera katono nnyo. Olw’okuba ku mikutu egyo abantu basobola okuteekateeka ebyo bye baba bagenda okwogera, era n’okukweka ebyo bye bataagala balala bamanye, kibabeerera kyangu nnyo okukweka ekyo kyennyini kye bali. N’olwekyo, kiba kikulu okwegendereza abantu b’ofuula mikwano gyo ku mikutu egyo. Omuntu gw’otomanyi totya kugaana kumufuula mukwano gwo, olw’okuba otya nti oyinza okumulumya. Olw’okwagala okwewala ebizibu ebiyinza okuvaamu, abamu basalawo obutakozesa mikutu migattabantu. Naye bw’osalawo okukozesa emikutu egyo, biki by’osaanidde okulowoozaako?

MULABE VIDIYO, EMIKUTU EMIGATTABANTU GIKOZESE MU NGERI EY’AMAGEZI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Kiki ky’osaanidde okulowoozaako nga tonnabaako bigambo oba bifaananyi by’oteeka ku mikutu emigattabantu?

  • Lwaki osaanidde okwegendereza ng’olonda abo b’onoofuula mikwano gyo ku mikutu emigattabantu?

  • Lwaki osaanidde okussaawo ekkomo ku biseera by’omala ku mikutu emigattabantu?​—Bef 5:15, 16