OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Engeri Ssatu Ze Tuyinza Okulagamu nti Twesiga Yakuwa
Dawudi yawangula Goliyaasi olw’okuba yeesiga Yakuwa. (1Sa 17:45) Yakuwa ayagala okulaga amaanyi ge ku lw’abaweereza be bonna. (2By 16:9) Tuyinza tutya okulaga nti twesiga obuyambi Yakuwa bw’atuwa, mu kifo ky’okwesiga obusobozi bwaffe oba obumanyirivu bwe tulina? Ka tulabe engeri ssatu ze tuyinza okukikolamu:
-
Sabanga obutayosa. Tokoma ku kusaba Yakuwa akusonyiwe oluvannyuma lw’okukola ekibi, wabula musabe akuyambe obutakola kibi ng’okemeddwa. (Mat 6:12, 13) Mu kifo ky’okusaba Yakuwa awe omukisa ekyo ky’oba omaze okusalawo, musabe akuwe obulagirizi n’amagezi nga tonnasalawo.—Yak 1:5
-
Beera n’enteekateeka ennungi ey’okusoma Bayibuli n’okwesomesa. Soma Bayibuli buli lunaku. (Zb 1:2) Fumiitiriza ku byokulabirako by’abantu aboogerwako mu Bayibuli, era okolera ku ebyo by’obayigirako. (Yak 1:23-25) Bw’oba ogenda okubuulira oba okuyigiriza, weeteeketeeke mu kifo ky’okwesigama ku bumanyirivu bw’olina. Ate era weeteekereteekere enkuŋŋaana osobole okuziganyulwamu mu bujjuvu
-
Tambulira wamu n’ekibiina kya Yakuwa. Fuba okumanya obulagirizi obuba butuweereddwa ekibiina kya Yakuwa, era obukolereko mu bwangu. (Kbl 9:17) Kolera ku bulagirizi obuba butuweereddwa abakadde.—Beb 13:17
MULABE VIDIYO, TETUSAANIDDE KUTYA KUYIGGANYIZIBWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
• Biki baganda baffe ne bannyinaffe abalagiddwa mu vidiyo bye baali batidde?
• Kiki ekyabayamba okuvvuunuka okutya kwe baalina?