Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Dawudi ng’alwanyisa Goliyaasi

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

“Olutalo lwa Yakuwa”

“Olutalo lwa Yakuwa”

Okukkiriza Dawudi kwe yalina mu Yakuwa kwali kwesigamye ku ebyo bye yali amumaanyiiko, era ne ku ngeri Yakuwa gye yali amuyambyemu emabega (1Sa 17:36, 37; wp16.5 lup. 11 ¶2-3)

Dawudi teyeegeraageranya na Goliyaasi, wabula yageraageranya Goliyaasi ku Yakuwa (1Sa 17:45-47; wp16.5 lup. 11-12)

Yakuwa yasobozesa Dawudi okuwangula omulabe eyali ow’amaanyi era ow’entiisa (1Sa 17:48-50; wp16.5 lup. 12 ¶4; laba ekifaananyi ku ddiba)

Oluusi tuyinza okuba nga twolekagana n’ekizibu eky’amaanyi, gamba ng’okuyigganyizibwa oba omuze omubi gwe twagala okuvvuunuka. Ekizibu bwe kiba nga kirabika ng’eky’amaanyi ennyo, kikulu okukijjukira nti kiba kitono nnyo bw’okigeraageranya ku maanyi ga Yakuwa agataliiko kkomo.​—Yob 42:1, 2.