OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okusoma Bayibuli Buli Lunaku n’Okunoonya Amagezi
Amagezi agava eri Katonda ga muwendo nnyo ng’eky’obugagga ekyakwekebwa. (Nge 2:1-6) Okuba n’amagezi agava eri Katonda kituyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Ate era amagezi ago gatuwa obukuumi. N’olwekyo, amagezi agava eri Yakuwa “kye kintu ekisinga obukulu.” (Nge 4:5-7) Kyetaagisa okufuba okusobola okunoonya eby’obugagga eby’eby’omwoyo ebiri mu Kigambo kya Katonda. Ekyo tusobola okukikola nga tusoma Ekigambo kya Katonda “emisana n’ekiro,” kwe kugamba, buli lunaku. (Yos 1:8) Ka tulabe agamu ku magezi agasobola okutuyamba okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku, era n’okunyumirwa okukisoma.
MULABE VIDIYO, EBIYAMBYE ABAVUBUKA OKWAGALA EKIGAMBO KYA KATONDA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Kusoomoozebwa ki abavubuka bano wammanga kwe baayolekagana nakwo nga bagezaako okusoma Bayibuli buli lunaku, era kiki ekyabayamba?
-
Melanie
-
Samuel
-
Celine
-
Raphaello
ENTEEKATEEKA YANGE EY’OKUSOMA BAYIBULI: