EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Ddi lw’Osaanidde Okwesiga Yakuwa?
Asa yeesiga Yakuwa n’asobola okuwangula eggye eddene (2By 14:9-12; w21.03 lup. 5 ¶12)
Oluvannyuma Asa yeesiga Abasuuli okumuyamba okulwanyisa eggye eritaali ddene nnyo (2By 16:1-3; w21.03 lup. 5 ¶13)
Olw’okuba Asa teyeeyongera kwesiga Yakuwa, Yakuwa teyamusanyukira (2By 16:7-9)
Tuyinza okulaga nti twesiga Yakuwa nga waliwo ebintu ebikulu ennyo bye twagala okusalawo. Ate kiba kitya ku bintu ebirala? Kikulu nnyo okulowoozanga ku Yakuwa mu buli mbeera yonna.—Nge 3:5, 6; w21.03 lup. 6 ¶14.