OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okusalawo mu Ngeri Eraga nti Twesiga Yakuwa
Buli lunaku tuba n’ebintu bingi bye tulina okusalawo. Abantu bangi mu nsi basalawo nga basinziira ku nneewulira yaabwe, oba bagoberera bugoberezi ekyo abasinga obungi kye baba basazeewo. (Kuv 23:2; Nge 28:26) Ku luuyi olulala, abo abeesiga Yakuwa ‘bamulowoozaako’ nga bakolera ku misingi gya Bayibuli bwe baba balina kye baagala okusalawo.—Nge 3:5, 6.
Wandiika embeera buli kimu ku byawandiikibwa bino wammanga mwe kisobola okukuyambira okusalawo obulungi.
MULABE VIDIYO, KOPPA ABO ABAALINA OKUKKIRIZA, SO SI ABO ABATAALINA KUKKIRIZA—MUSA, SO SI FALAAWO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EKIBUUZO KINO:
Ekyokulabirako ekimu ekiri mu Bayibuli kyayamba kitya ow’oluganda okusalawo obulungi?