Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maaki 20-26

2 EBYOMUMIREMBE 1-4

Maaki 20-26

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Okuyita Abantu ku Kijjukizo: (Ddak. 3) Yita oyo gw’okola naye, gw’osoma naye, oba omu ku b’eŋŋanda zo. (th essomo 2)

  • Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Ddayo eri omuntu eyakkiriza akapapula akayita abantu ku Kijjukizo era eyalaga okusiima. Mubuulire ku nteekateeka yʼokuyiga Bayibuli ku bwereere era omuwe brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Beera ng’amulaga vidiyo, Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli? era mugikubaganyeeko ebirowoozo. (th essomo 17)

  • Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5) lff essomo 09 akatundu 5 (th essomo 9)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 19

  • Weeteekeddeteekedde Olunaku Olusinga Obukulu mu Mwaka?: (Ddak. 15) Kwogera n’okulaba vidiyo. Kitundu kya kuweebwa mulabirizi w’obuweereza. Babuulire we mutuuse mu kaweefube w’okugaba obupapula obuyita abantu ku Kijjukizo. Buuza ebibuuzo abo abafunye ebyokulabirako ebirungi mu kaweefube. Yogera ku nteekateeka y’okusoma Bayibuli okukwata ku Kijjukizo eri ku lupapula 8 ne 9, era obakubirize bonna okuteekateeka emitima gyabwe. (Ezr 7:10) Yogera ku ngeri gye tuyinza okwanirizaamu abagenyi n’essanyu ku lunaku lw’Ekijjukizo. (Bar 15:7; mwb16.03 lup. 2) Mulabe vidiyo, Engeri y’Okukolamu Omugaati ogw’Oku Kijjukizo.

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 41 akatundu 1-4

  • Okufundikira (Ddak. 3)

  • Oluyimba 135 n’Okusaba