EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Omutima Gwange Gunaabeeranga Eyo Bulijjo”
Yakuwa yeerondera yeekaalu (2By 7:11, 12)
Omutima gwa Yakuwa gwandibaddenga ku yeekaalu eyo, ekiraga nti yandifuddengayo ku ebyo ebyandibadde bikolebwa mu yeekaalu eyo eyali ezimbiddwa ku lw’erinnya lye (2By 7:16; w02-E 11/15 lup. 5 ¶1)
Abantu bwe bandirekedde awo okuweereza Yakuwa “n’omutima gwabwe gwonna,” yandirese yeekaalu eyo n’ezikirizibwa (2By 6:14; 7:19-21; it-2-E lup. 1077-1078)
Yeekaalu bwe yali etongozebwa, abantu bayinza okuba nga baalowooza nti bandisigadde nga baweereza Yakuwa n’omutimba gwabwe gwonna. Eky’ennaku, abantu baagenda baddirira mpolampola ne bava ku kusinza Yakuwa.
WEEBUUZE, ‘Nkiraga ntya nti nsinza Yakuwa n’omutima gwange gwonna?’