Maaki 6-12
1 EBYOMUMIREMBE 23-26
Oluyimba 123 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Okusinza mu Yeekaalu Kwali Kutegekeddwa Bulungi Nnyo”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
1By 25:7, 8—Ennyiriri zino ziraga zitya obukulu bw’okuyimba ennyimba ezitendereza Yakuwa? (w22.03 lup. 22 ¶10)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) 1By 23:21-32 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Engeri y’Okuyita Abantu ku Kijjukizo: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Kijjukizo. Muyimirize vidiyo buli awali akabonero ak’okugiyimiriza era obuuze ebibuuzo ebiragiddwa mu vidiyo.
Okuyita Abantu ku Kijjukizo: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma lw’oyo gw’obuulira okulaga okusiima, beera ng’amulaga vidiyo, Okujjukira Okufa kwa Yesu era mugikubaganyeeko ebirowoozo. (th essomo 11)
Okwogera: (Ddak. 5) w11-E 6/1 lup. 14-15—Omutwe: Lwaki Abakristaayo Bategekeddwa Bulungi? (th essomo 14)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Engeri Gye Tuyinza Okuyambako nga Waguddewo Akatyabaga”: (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo n’okulaba vidiyo.
Kaweefube w’Okuyita Abantu ku Kijjukizo Ajja Kutandika ku Lwomukaaga, Maaki 11: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mu bufunze, yogera ku ebyo ebiri mu kapapula akayita abantu ku Kijjukizo. Yogera ku nteekateeka ekoleddwa ekwata ku kwogera okw’enjawulo, ku mukolo gw’Ekijjukizo, era ne ku kugaba obupapula mu kitundu kye mubuuliramu.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 39 n’ebyongerezeddwako 3
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 127 n’Okusaba