Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Apuli 1-7

ZABBULI 23-25

Apuli 1-7

Oluyimba 4 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. “Yakuwa ye Musumba Wange”

(Ddak. 10)

Yakuwa atukulembera (Zb 23:​1-3; w11-E 5/1 lup. 31 ¶3)

Yakuwa atukuuma (Zb 23:4; w11-E 5/1 lup. 31 ¶4)

Yakuwa atuliisa (Zb 23:5; w11-E 5/1 lup. 31 ¶5)

Yakuwa alabirira abaweereza be ng’omusumba omulungi bw’alabirira endiga ze.

WEEBUUZE, ‘Yakuwa andabiridde atya?’

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 23:3—“Amakubo ag’obutuukirivu,” kye ki era kiki ekinaatuyamba obutagavaamu? (w11 2/15 lup. 24 ¶1-3)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Omuntu akubuulidde engeri gy’awuliramu olw’embeera y’ensi eyonoonese. Musomereyo ekyawandiikibwa ekizzaamu amaanyi. (lmd essomo 2 akatundu 5)

5. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Laga omuntu eyakkiriza akatabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli. (lmd essomo 9 akatundu 3)

6. Okufuula Abantu Abayigirizwa

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 54

7. Tetuwuliriza Ddoboozi ly’Abantu be Tutamanyi

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Endiga zimanyi eddoboozi ly’omusumba waazo era zimugoberera. Kyokka oyo gwe zitamanyi bw’aziyita zimudduka. (Yok 10:5) Mu ngeri y’emu naffe tuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa ne Yesu, Abasumba baffe mu by’omwoyo, abatwagala era be twesiga. (Zb 23:1; Yok 10:11) Kyokka tetuwuliriza ddoboozi ly’abo be tutamanyi, abagezaako okunafuya okukkiriza kwaffe nga bakozesa “ebigambo eby’obulimba.”—2Pe 2:​1, 3.

Olubereberye essuula ey’okusatu walaga omulundi ogusooka eddoboozi ly’Oyo atamanyiddwa lwe lyasooka okuwulirwa ku nsi. Sitaani yakweka Kaawa ekyo ky’ali ng’akozesa omusota okwogera naye. Yanyoolanyoola ebigambo bya Yakuwa nga yeefuula okuba mukwano gwa Kaawa. Eky’ennaku Kaawa yamuwuliriza era ekyo kyamuviiramu okubonaabona, awamu n’abantu bonna.

Leero Sitaani agezaako okutuleetera okubuusabuusa Yakuwa awamu n’ekibiina kye, ng’abunyisa ebintu eby’obulimba n’ebintu ebibuzaabuza. Tetusaanidde kuwuliriza ddoboozi lya muntu gwe tutamanyi. N’okuwulirizaako akatono ku by’obulimba kya bulabe. Sitaani yakozesa ebigambo bitono nnyo okubuzaabuza Kaawa era yakozesa akaseera katono. (Lub 3:​1, 4, 5) Kiki kye twandikoze singa omuntu gwe tumanyi, atwagala, era alina ebiruubirirwa ebirungi, ayagala okutubuulira eby’obulimba ku kibiina kya Yakuwa?

Mulabe VIDIYO Towuliriza ’Ddoboozi ly’Abantu B’Otamanyi’! Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

Kiki ky’oyigidde ku ngeri Shanita gy’akuttemu embeera, nga maama we atali mu mazima ayagala okumubuulira eby’obulimba ebyogerwa ku kibiina kya Yakuwa?

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 55 n’Okusaba