Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Apuli 15-21

ZABBULI 29-31

Apuli 15-21

Oluyimba 108 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Okukangavvulwa Kiraga nti Katonda Atwagala

(Ddak. 10)

Yakuwa yakweka Dawudi amaaso ge, Dawudi bwe yamujeemera (Zb 30:7; it-1-E lup. 802 ¶3)

Dawudi yasaba Yakuwa amukwatirwe ekisa (Zb 30:8)

Yakuwa teyasigala ng’asunguwalidde Dawudi (Zb 30:5; w07-E 3/1 lup. 19 ¶1)


Ebyo ebiri mu Zabbuli 30 biyinza okuba nga birina akakwate n’ebyo ebyaliwo oluvannyuma lwa Dawudi okulagira nti Abayisirayiri babalibwe.—2Sa 24:25.

EKY’OKULOWOOZAAKO: Omuntu agobeddwa mu kibiina ayinza atya okuganyulwa mu kukangavvulwa okuba kumuweereddwa n’akiraga nti yeenenyezza?—w21.10 lup. 6 ¶18.

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 31:23—Omuntu ow’amalala Yakuwa amusasula atya mu bujjuvu? (w06 6/1 lup. 31 ¶9)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 1) OKUBUULIRA MU BIFO EBYA LUKALE. Mu bumpimpi buulira omuntu alina eby’okukola ebingi. (lmd essomo 5 akatundu 3)

5. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Laga omukyala alina abaana emu ku vidiyo z’abaana era omulage engeri gy’asobola okufunamu vidiyo z’abaana endala ku jw.org. (lmd essomo 3 akatundu 3)

6. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA MU BIFO EBYA LUKALE. Tandika okuyigiriza omuntu Bayibuli eyali tayagala kuyiga mu biseera eby’emabega. (lmd essomo 8 akatundu 3)

7. Okufuula Abantu Abayigirizwa

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 45

8. Ensonga Lwaki . . . Tukkiriza nti Katonda Atwagala

(Ddak. 7) Kukubaganya birowoozo. Mulabe VIDIYO. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

Ekyokulabirako ky’ow’oluganda oyo kituyigiriza ki ku kwagala kwa Katonda?

9. Lipoota y’Ekitongole Ekikola ogw’Okuzimba mu Nsi Yonna Eya 2024

(Ddak. 8) Kwogera. Mulabe VIDIYO.

10. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) bt sul. 8 ¶13-21

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 99 n’Okusaba