Apuli 22-28
ZABBULI 32-33
Oluyimba 103 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Lwaki Tusaanidde Okwogera Ekibi eky’Amaanyi kye Tuba Tukoze?
(Ddak. 10)
Dawudi yalumirizibwa omutima bwe yagezaako okukweka ekibi eky’amaanyi kye yali akoze oboolyawo eky’okwenda ku Basuseba (Zb 32:3, 4; w93-E 3/15 lup. 9 ¶7)
Dawudi yayatulira Yakuwa ebibi bye era Yakuwa yamusonyiwa (Zb 32:5; cl lup. 262 ¶8)
Dawudi yafuna obuweerero Yakuwa bwe yamusonyiwa (Zb 32:1; w01-E 6/1 lup. 30 ¶1)
Bwe tukola ekibi eky’amaanyi, tulina okwatulira Yakuwa ekibi ekyo, ne tukkiriza ensobi gye tuba tukoze, era ne tumusaba atusonyiwe. Ate era tusaanidde okutuukirira abakadde batuyambe okutereeza enkolagana yaffe ne Yakuwa. (Yak 5:14-16) Bwe tukola bwe tutyo, tufuna obuweerero.—Bik 3:19.
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
Zb 33:6—“Omukka” ogw’omu kamwa ka Yakuwa kye ki? (w06 6/1 lup. 31 ¶10)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Zb 33:1-22 (th essomo 11)
4. Beera Mwetoowaze—Ekyo Pawulo Kye Yakola
(Ddak. 7) Kukubaganya birowoozo. Mulabe VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku lmd essomo 4 akatundu 1-2.
5. Beera Mwetoowaze—Koppa Pawulo
(Ddak. 8) Kukubaganya birowoozo lmd essomo 4 akatundu 3-5 ne “Laba ne.”
Oluyimba 74
6. Ebyetaago by’Ekibiina
(Ddak. 15)
7. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 8 ¶22-24, akasanduuko ku lupapula 75