Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Apuli 29–Maayi 5

ZABBULI 34-35

Apuli 29–Maayi 5

Oluyimba 10 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. “Tendereza Yakuwa Ekiseera Kyonna”

(Ddak. 10)

Dawudi yatenderezanga Yakuwa ne bwe yali ng’ayolekagana n’ebizibu (Zb 34:1; w07 3/1 lup. 25 ¶11)

Dawudi yeenyumiririzanga mu Yakuwa (Zb 34:​2-4; w07 3/1 lup. 26 ¶13)

Ebigambo Dawudi bye yayogera ng’atendereza Yakuwa byanyweza banne (Zb 34:5; w07 3/1 lup. 26 ¶15)

Oluvannyuma lwa Dawudi okununulibwa mu mukono gwa Abimereki, abasajja 400 abataali basanyufu olw’engeri kabaka Sawulo gye yali afugamu, beegatta ku Dawudi mu ddungu. (1Sa 22:​1, 2) Dawudi ayinza okuba nga yali alowooza ku basajja abo we yawandiikira Zabbuli eya 34.—Zb 34, obugambo obuli waggulu.

WEEBUUZE, ‘Nnyinza ntya okutendereza Yakuwa nga nnina gwe nnyumya naye ku Kizimbe ky’Obwakabaka ku lukuŋŋaana olunaddako?’

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 35:19—Dawudi yali ategeeza ki bwe yasaba Yakuwa nti ‘abamukyawa baleme kumutunuuliza bunyoomi’? (w06 6/1 lup. 31 ¶11)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 2) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Omuntu akomya emboozi nga tonnaba kumuwa bujulirwa. (lmd essomo 1 akatundu 4)

5. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. (lmd essomo 2 akatundu 4)

6. Okunnyonnyola Abalala Ebyo by’Okkiririzaamu

(Ddak. 5) Okulaga ekyokulabirako. ijwfq 59—Omutwe: Biki Abajulirwa ba Yakuwa bye Basinziirako Okusalawo Obanga Banaakuza Olunaku Olukuzibwa oba Nedda? (th essomo 17)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 59

7. Engeri Ssatu ze Tusobola okutenderezaamu Yakuwa mu Nkuŋŋaana

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Mu nkuŋŋaana zaffe tufuna akakisa ak’okutendereza Yakuwa. Ka tulabeyo engeri ssatu ze tusobola okumutenderezaamu.

Okunyumya: Yogera ku bulungi bwa Yakuwa ng’onyumya n’abalala. (Zb 145:​1, 7) Olina ekintu kye wawulidde oba kye wasomyeko ekyakuganyudde? Waliwo ekintu ekirungi ekyabaddewo ng’obuulira? Waliwo omuntu eyakugambye ebigambo ebyakuzizzaamu amaanyi oba eyakukoledde ekintu ekirungi? Waliwo ekitonde kya Yakuwa kye walabye ekyakusanyusizza? Bino byonna birabo okuva eri Yakuwa. (Yak 1:17) Fuba okutuuka nga bukyali osobole okufuna akadde okunyumyako n’abalala.

Okuddamu mu Nkuŋŋaana: Fuba okubaako ne ky’oddamu waakiri kimu mu buli lukuŋŋaana. (Zb 26:12) Oyinza okuddamu butereevu ekibuuzo ekiba kibuuziddwa, okwogera ku nsonga endala eri mu katundu, okwogera ku kyawandiikibwa, ekifaananyi, oba engeri gye tusobola okukolera ku ebyo ebiba biri mu katundu. Okuva bwe kiri nti abalala nabo bayinza okuwanika emikono nga naawe owanise, teekateeka eby’okuddamu ebiwerako. Bwe tukozesa obutikitiki 30 oba obutawera, kijja kusobozesa abalala bangi ‘okuwaayo eri Katonda ssaddaaka ey’okutendereza.’—Beb 13:15.

Okuyimba: Yimba ennyimba z’Obwakabaka mu ddoboozi ery’omwanguka. (Zb 147:1) Oyinza obutalondebwa kubaako na ky’oddamu mu buli lukuŋŋaana, naddala ng’ekibiina ky’olimu kirimu abantu bangi; naye osobola okuyimba. Ne bw’oba owulira nga toli muyimbi mulungi, fuba okuyimba, ekyo kijja kusanyusa nnyo Yakuwa! (2Ko 8:12) Osobola okwegezaamu mu nnyimba ezinaayimbibwa mu nkuŋŋaana ng’okyali waka.

Mulabe VIDIYO Ekibiina Kyaffe Gye Kivudde—Obukulu bw’Okuyimba, Ekitundu 1. Oluvannyuma buuza abawuliriza:

Mu biseera eby’edda, ekibiina kya Yakuwa kyalaga kitya nti okuyimba kintu kikulu nnyo?

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba Olupya olw’Olukuŋŋaana Olunene Olwa 2024 n’Okusaba