Apuli 8-14
ZABBULI 26-28
Oluyimba 34 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Ebyo Dawudi Bye Yakola Okusigala nga Mwesigwa eri Yakuwa
(Ddak. 10)
Dawudi yasaba Yakuwa alongoose ebirowoozo bye (Zb 26:1, 2; w04 12/1 lup. 23 ¶8-9)
Dawudi yeewala emikwano emibi (Zb 26: 4, 5; w04 12/1 lup. 24 ¶12-13)
Dawudi yali ayagala nnyo okusinza Yakuwa (Zb 26:8; w04 12/1 lup. 26 ¶17-18)
Wadde nga Dawudi yakola ensobi, yaweereza Yakuwa “n’omutima gwe gwonna, era n’obugolokofu.” (1Sk 9:4) Obugolokofu bwe yabwoleka ng’ayagala Yakuwa era ng’amwemalirako.
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
-
Zb 27:10—Ekyawandiikibwa kino kiyinza kitya okutuzzaamu amaanyi ng’abantu baffe batwabulidde? (w06 8/1 lup. 21 ¶15)
-
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Zb 27:1-14 (th essomo 2)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 2) NNYUMBA KU NNYUMBA. Kozesa emu ku tulakiti eziri mu ebyo bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. (th essomo 3)
5. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiri emabega wa tulakiti gye wamulekera. Mubuulire ku mukutu gwaffe ogwa jw.org, era omulage ebimu ku ebyo ebiriyo. (lmd essomo 9 akatundu 3)
6. Okwogera
(Ddak. 5) lmd Ebyongerezeddwako A akatundu 3—Omutwe: Ensi ejja kufuuka ekifo ekirabika obulungi ennyo. (th essomo 13)
Oluyimba 128
7. Abavubuka Abeewala Ebikolwa eby’Obugwenyufu
(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.
Abavubuka Abakristaayo balina okufuba okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu. Abavubuka tebatuukiridde, era balina okufuba okusigala nga bayonjo mu mpisa mu kiseera ekya kabuvubuka, ekiseera okwegomba kwabwe okw’okwegatta we kubeerera okw’amaanyi ne kiba nti kisobola okubabeerera ekizibu okusalawo obulungi. (Bar 7:21; 1Ko 7:36) Ate era balina okuziyiza okupikirizibwa okuva eri abo abaagala beenyigire mu bikolwa eby’obugwenyufu nga mw’otwalidde n’okulya ebisiyaga. (Bef 2:2) Tusiima nnyo abo abasigadde nga beesigwa eri Yakuwa.
Mulabe VIDIYO Bwe Nnali Omutiini—Nnyinza Ntya Okuziyiza Okupikirizibwa Okwegatta nga Sinnayingira Bufumbo? Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:
-
Kupikirizibwa ki Cory ne Kamryn kwe baafuna?
-
Kiki ekyabayamba okusigala nga beesigwa?
-
Misingi ki egya Bayibuli egisobola okukuyamba mu mbeera ng’ezo?
8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 8 ¶5-12