Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maaki 18-24

ZABBULI 19-21

Maaki 18-24

Oluyimba 6 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. “Eggulu Lirangirira Ekitiibwa kya Katonda”

(Ddak. 10)

Ebitonde bya Yakuwa birangirira ekitiibwa kye (Zb 19:1; w04 1/1 lup. 20 ¶1-2)

Enjuba yeewuunyisa (Zb 19:​4-6; w04 6/1 lup. 23 ¶8-10)

Tusaanidde okubaako bye tuyigira ku bitonde bya Yakuwa (Mat 6:28; g95-E 11/8 lup. 7 ¶3)


KYE MUSOBOLA OKUKOLA MU KUSINZA KW’AMAKA: Mwetegereze ebitonde, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku ekyo kye bituyigiriza ku Yakuwa.

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 19:​7-9—Kiki Yakuwa kye yassaawo ekisobozesa ebitonde byonna okukolera awamu? (w17.02 lup. 4 ¶5)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA MU BIFO EBYA LUKALE. Wa omuntu akapapula akayita abantu ku Kijjukizo, era okozese omukutu gwa jw.org olabe ekifo ekiri okumpi w’ayinza okukwatira Omukolo ogwo. (lmd essomo 2 akatundu 3)

5. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Yaniriza omuntu azze ku Kijjukizo, eyasanga akapapula akayita abantu ku Kijjukizo ku mulyango gwe. Kola enteekateeka okumukyalira osobole okuddamu ebibuuzo by’alina. (lmd essomo 3 akatundu 4)

6. Okunnyonnyola Abalala Ebyo by’Okkiririzaamu

(Ddak. 5) Okwogera. ijwfq 45—Omutwe: Lwaki Engeri Abajulirwa ba Yakuwa Gye Bakwatamu Omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe Eyawukana ku y’Amadiini Amalala? (th essomo 6)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 141

7. Ebitonde ka Bikuyambe Okunyweza Okukkiriza Kwo

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe VIDIYO. Oluvannyuma buuza abawuliriza:

Obutonde bukuyamba butya okunyweza okukkiriza kwo mu Mutonzi?

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 127 n’Okusaba