Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maaki 4-10

ZABBULI 16-17

Maaki 4-10

Oluyimba 111 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. “Yakuwa, ye Nsibuko y’Ebintu Ebirungi”

(Ddak. 10)

Okuba n’ab’emikwano abaweereza Yakuwa kituleetera essanyu (Zb 16:​2, 3; w18.12 lup. 26 ¶11)

Okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kituleetera essanyu (Zb 16:​5, 6; w14 2/15 lup. 29 ¶4)

Obukuumi bw’eby’omwoyo Yakuwa bw’atuwa butuleetera okuwulira nga tulina emirembe (Zb 16:​8, 9; w08 2/15 lup. 3 ¶2-3)

Okufaananako Dawudi naffe tuli basanyufu olw’okuba tukulembeza okusinza Yakuwa mu bulamu bwaffe.

WEEBUUZE, ‘Obulamu bwange bulongoose butya okusinga bwe bwali nga sinnayiga mazima?’

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 17:8—Ebigambo “emmunye y’eriiso lyo” bitegeeza ki? (it-2-E lup. 714)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 1) NNYUMBA KU NNYUMBA. Muwe akapapula akayita abantu ku kijjukizo. (th essomo 11)

5. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. Wa omuntu akapapula akayita abantu ku kijjukizo. Bw’alaga okusiima, mulage vidiyo Okujjukira Okufa kwa Yesu, era mugikubaganyeeko ebirowoozo. (th essomo 9)

6. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 2) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Muwe akapapula akayita abantu ku kijjukizo. (th essomo 2)

7. Okufuula Abantu Abayigirizwa

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 20

8. Tuyinza Tutya Okweteekerateekera Omukolo gw’Ekijjukizo?

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Ku Ssande nga Maaki 24 tujja kukwata Omukolo gw’Okujjukira okufa kwa Yesu, nga tugondera ekiragiro Yesu kye yatuwa, era nga tujjukira okwagala okungi ennyo Yakuwa ne Yesu kwe baatulaga. (Luk 22:19; Yok 3:16; 15:13) Tuyinza tutya okweteekerateekera olunaku olwo olw’enjawulo?

  • Weenyigire mu bujjuvu mu kaweefube ow’okuyita abantu ku kwogera okw’enjawulo ne ku mukolo gw’Ekijjukizo. Kola olukalala lw’abo b’oyagala okuyita era obayite. Mu abo b’ogenda okuyita, bwe wabaawo ababeera ewala okuva mu kitundu w’okuŋŋaanira, genda ku jw.org onoonye ekifo ekibali okumpi we basobola okukuŋŋaanira, era olabe n’essaawa ze banaatandikirako

  • Gaziya ku buweereza bwo mu mwezi gwa Maaki ne Apuli. Osobola okuweereza nga payoniya omuwagizi ng’owaayo essaawa 15 oba 30

  • Okuva nga Maaki 18, tandika okusoma ku bintu ebikulu ebyaliwo mu wiiki eyasembayo nga Yesu tannattibwa. Osobola okusalawo obungi bw’ebyo by’onaasoma buli lunaku, ebiri mu “Nteekateeka y’Okusoma Bayibuli Okukwata ku Kijjukizo eya 2024” eri ku lupapula 6-7

  • Ku lunaku lw’Ekijjukizo, laba vidiyo y’Ekyawandiikibwa ky’Olunaku ekwata ku Kijjukizo ku jw.org

  • Ku Mukolo gw’Ekijjukizo, yaniriza abapya n’abo abaggwaamu amaanyi. Oluvannyuma lw’Ekijjukizo, beera mwetegefu okuddamu ebibuuzo abo abazze ku Kijjukizo bye bayinza okuba nabyo. Kola enteekateeka okubakyalira osobole okubayamba okuyiga ebisingawo

  • Fumiitiriza ku kinunulo ng’olunaku lw’Ekijjukizo terunnatuuka n’oluvannyuma lw’Ekijjukizo

Mulabe VIDIYO Okujjukira Okufa kwa Yesu. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza ekibuuzo kino:

Tuyinza tutya okukozesa vidiyo eyo mu kaweefube w’okuyita abantu ku Kijjukizo?

9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 73 n’Okusaba