Apuli 14-20
ENGERO 9
Oluyimba 56 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Beera Wa Magezi, Tobeera Munyoomi
(Ddak. 10)
Omuntu omunyoomi takkiriza kuwabulwa, era anyiigira oyo aba amuwabudde (Nge 9:7, 8a; w22.02 lup. 9 ¶4)
Omuntu ow’amagezi asiima okuwabulwa okumuweebwa n’oyo aba amuwabudde (Nge 9:8b, 9; w22.02 lup. 12 ¶12-14; w01-E 5/15 lup. 30 ¶1-2)
Omuntu ow’amagezi aganyulwa, naye omunyoomi afuna ebizibu (Nge 9:12; w01-E 5/15 lup. 30 ¶5)
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
Nge 9:17—“Amazzi amabbe” kye ki era lwaki‘gawooma’? (w23.06 lup. 22 ¶9)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Nge 9:1-18 (th essomo 5)
4. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Omuntu yaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo. (lmd essomo 8 akatundu 3)
5. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 4) OKUBUULIRA MU BIFO EBYA LUKALE. Ku mulundi ogwayita wamuyamba okumanya ekifo ekimuli okumpi w’ayinza okukwatira Omukolo gw’Ekijjukizo.(lmd essomo 7 akatundu 4)
6. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Wayamba omu ku b’eŋŋanda zo okumanya ekifo ekimuli okumpi w’ayinza okukwatira omukolo gw’Ekijjukizo. (lmd essomo 8 akatundu 4)
Oluyimba 84
7. Okuba n’Enkizo Kikufuula Okuba owa Waggulu ku Balala?
(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.
Mulabe VIDIYO. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:
Ekigambo “enkizo” kitegeeza ki?
Abo abalina enkizo mu kibiina basaanidde kwetwala batya?
Lwaki okuweereza abalala tusaanidde okukitwala nga kikulu okusinga enkizo ze tulina?
8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 25 ¶5-7, akasanduuko ku lup. 228