April 21-27
ENGERO 10
Oluyimba 76 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Tuyinza Tutya Okufuna Essanyu Erya Nnamaddala mu Bulamu?
(Ddak. 10)
Ekimu ku ebyo ebitusobozesa okufuna essanyu mu bulamu kwe kuba abanyiikivu mu kuyamba abantu okumanya ebikwata ku Yakuwa(Nge 10:4, 5; w01-E 7/15 lup. 25 ¶1-3)
Okuba omutuukirivu kisinga okuba n’eby’obugagga (Nge 10:15, 16; w01-E 9/15 lup. 24 ¶3-4)
Emikisa gya Yakuwa gye gireetera omuntu okuba n’essanyu erya nnamaddala (Nge 10:22; it-1-E lup. 340)
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
Nge 10:22—Lwaki ekyawandiikibwa ekyo kigamba nti omukisa gwa Yakuwa “tagugattako bulumi” ate ng’abaweereza be bafuna ebizibu bingi? (w06 6/1 lup. 17 ¶18)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Nge 10:1-19 (th essomo 10)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Omuntu akugamba nti takkiririza mu Katonda. (lmd essomo 4 akatundu 3)
5. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Mulage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli. (lmd essomo 4 akatundu 4)
6. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Laga omuntu engeri gy’ayinza okuzuulamu ebintu ebiyinza okumukwatako ku jw.org (lmd essomo 9 akatundu 4)
Oluyimba 111
7. Mikisa Ki Egigaggawaza Abaweereza ba Katonda?
(Ddak. 7) Kukubaganya birowoozo.
Emikisa Yakuwa gy’awa abaweereza be mu nnaku zino enzibu gituyamba okweyongera okumuweereza n’okuba abasanyufu. (Zb 4:3; Nge 10:22) Musome ebyawandiikibwa bino wammanga, oluvannyuma obuuze abawuliriza engeri emikisa gya Yakuwa gye gitugaggawazaamu.
Abamu basobodde okugaziya ku buweereza bwabwe ne bongera okuba abasanyufu.
Mulabe VIDIYO Abavubuka—Mutambulire mu Kkubo Erinaabayamba Okufuna Emirembe! Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:
Biki by’oyigidde ku Harley, Anjil, ne Carlee?
8. Lipoota y’Ekitongole Ekikola ogw’Okuzimba Eya 2025
(Ddak. 8) Okwogera. Mulabe VIDIYO.
9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 25 ¶8-13, akasanduuko ku lup. 229