Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Apuli 28–Maayi 4

ENGERO 11

Apuli 28–Maayi 4

Oluyimba 90 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Tokyogera!

(Ddak. 10)

Toyogera kintu ekiyinza okulumya abalala(Nge 11:9; w02-E 5/15 lup. 26 ¶4)

Toyogera kintu kyonna ekiyinza okuleetawo enjawukana (Nge 11:11; w02-E 5/15 lup. 27 ¶2-3)

Toyasanguza byama (Nge 11:​12, 13; w02-E 5/15 lup. 27 ¶5)

EKY’OKULOWOOZAAKO: Ebigambo bya Yesu ebiri mu Lukka 6:45 biyinza bitya okutuyamba okwewala okwogera ebigambo ebirumya abalala?

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Nge 11:17—Okwoleka ekisa kituganyula kitya? (g20.1 lup. 11, akasanduuko)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Noonya engeri gy’oyinza okubuulira omuntu ebimu ku ebyo bye wayize mu lukuŋŋaana olwakaggwa. (lmd essomo 2 akatundu 4)

5. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Mulage emu ku vidiyo eziri mu Bye Tukozesa Okuyigiriza. (lmd essomo 8 akatundu 3)

6. Okufuula Abantu Abayigirizwa

(Ddak. 4) OKUBUULIRA MU BIFO EBYA LUKALE. Mutegeeze ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli era omulage engeri gye tukikolamu. (lmd essomo 10 akatundu 3)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 157

7. Tokkiriza Lulimi Lwo Kumalawo Mirembe

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Olw’okuba tetutuukiridde, tusobya mu kwogera. (Yak 3:8) Kyokka bwe tulowooza ku bizibu ebiva mu kukozesa obubi olulimi lwaffe, kijja kituyamba okwewala okwogera ebintu bye tujja okwejjusa oluvannyuma. Weetegereze engeri enkyamu gye tuyinza okukozesaamu olulimi, ne kimalawo emirembe mu kibiina:

  • Okwewaana. Omuntu eyeewaana abeera yeegulumiza olw’ebyo by’aba atuseeko. Ekyo kiyinza okuleetawo okuvuganya n’obuggya.—Nge 27:2

  • Obutali bwesigwa mu njogera. Kino kizingiramu okwogera eby’obulimba n’okubuzaabuza abalala. Obutaba beesigwa wadde ku kigero ekitono, kiyinza okwonoona erinnya lyaffe n’okuleetera abalala obutatwesiga.—Mub 10:1

  • Olugambo. Kino kizingiramu okwogera ku balala ebintu ebitali bituufu oba okwogera ebitakukwatako. (1Ti 5:13) Ekyo kiyinza okuvaamu okuyomba n’enjawukana

  • Okwogeza obusungu. Omuntu ayogera ng’aliko obusungu teyeefuga ng’ayogera n’oyo aba amunyiizizza, era aba mukambwe ng’ayoleka engeri gy’aba yeewuliramu (Bef 4:26) Ekyo kisobola okulumya abalala.—Nge 29:22

Mulabe VIDIYO Weewale Ebintu Ebimalawo Emirembe. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Okuba nti ebyo bye twogera biyinza okutabangula amangu emirembe mu kibiina okiyigiddeko ki?

Laba vidiyo Noonyanga Emirembe era Ogigoberere olabe engeri gye bazzaawo emirembe.

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) bt sul. 25 ¶14-21

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba Olupya olw’Olukuŋŋaana Olunene Olwa 2025 n’Okusaba