Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Apuli 7-13

ENGERO 8

Apuli 7-13

Oluyimba 89 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Wuliriza Amagezi

(Ddak. 10)

Yesu, ayogerwako ng’amagezi, Yakuwa gwe ‘yasooka okutonda’ (Nge 8:​1, 4, 22; cf-E lup. 131 ¶7)

Yesu yeeyongera okwagala Kitaawe n’okuba n’amagezi mu bbanga lye baamala nga bakolera wamu mu kutonda (Nge 8:​30, 31; cf-E lup. 131-132 ¶8-9)

Tuganyulwa mu magezi ga Yesu nga tumuwuliriza (Nge 8:​32, 35; w09 4/15 lup. 31 ¶14)

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Nge 8:​1-3—Amagezi “gakoowoola” gatya?(g-E 5/14 lup. 16)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Ddamu ebibuuzo by’oyo ayagala okujja ku mukolo gw’Ekijjukizo ebikwata ku ngeri omukolo gye gunaatambulamu. (lmd essomo 9 akatundu 3)

5. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Yaniriza omuntu azze ku mukolo gw’Ekijjukizo eyasanga akapapula akamuyita ku mulyango gwe, era oluvannyuma lw’omukolo baako by’okola okumuyamba. (lmd essomo 3 akatundu 5)

6. Okunnyonnyola Abalala Ebyo by’Okkiririzaamu

(Ddak. 5) Okwogera. ijwbq-E ekitundu 160 —Omutwe: Lwaki Yesu Ayitibwa Omwana wa Katonda? (th essomo 1)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 105

7. Ebyetaago by’Ekibiina

(Ddak. 15)

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 7 n’Okusaba