Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maaki 17-23

ENGERO 5

Maaki 17-23

Oluyimba 122 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Weewale Ebikolwa eby’Obugwenyufu

(Ddak. 10)

Ebikolwa eby’obugwenyufu biyinza okutusikiriza (Nge 5:3; w00-E 7/15 lup. 29 ¶1)

Okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu kireeta ennaku n’okwejjusa (Nge 5:​4, 5; w00-E 7/15 lup. 29 ¶2)

Weewalire ddala ebikolwa eby’obugwenyufu (Nge 5:8; w00-E 7/15 lup. 29 ¶5)

Mwannyinaffe ng’agaana okuwa omuvubuka ennamba ye ey’essimu

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Nge 5:9—Okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu kiyinza kitya okuleetera omuntu ‘okuggwaamu ekitiibwa’? (w00-E 7/15 lup. 29 ¶7)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA MU BIFO EBYA LUKALE. Yita omuntu atakkiririza mu Yesu okubaawo ku Kijjukizo, era okozese jw.org okuzuula ekifo ekimuli okumpi awanaabeera Ekijjukizo. (lmd essomo 6 akatundu 4)

5. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Lwe wasembayo okwogera naye yakkiriza akapapula akamuyita ku Kijjukizo era n’ayagala okumanya ebisingawo. (lmd essomo 9 akatundu 5)

6. Okufuula Abantu Abayigirizwa

(Ddak. 5) lff essomo 16 mu bufunze, okwejjukanya, n’eky’okukolako. Omuyizi akubuuza obanga Yesu yali mufumbo; mulage engeri gy’asobola okunoonyereza ku nsonga eyo. (lmd essomo 11 akatundu 4)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 121

7. Biki by’Oyinza Okukola Okusigala ng’Oli Muyonjo mu Mpisa nga Mwogerezeganya?

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Okwogerezeganya kiyinza okutegeeza “ekiseera omusajja n’omukazi kye bamala nga buli omu agezaako okumanya munne, okulaba obanga banaasobola banaafumbiriganwa.” Basobola okwogereranga ku ssimu, okwesindikira mesegi, oba okwogera maaso ku maaso. Basobola okwogera nga waliwo abalala oba nga tewali. Basobola okutegeezaako abalala nti boogerezaganya oba obutabategeeza. Okwogerezeganya tetukitwala ng’eky’okwesanyusaamu obwesanyusa, wabula tukitwala nti ng’ekintu ekiyamba omwami n’omukyala okulaba obanga banaasobola okubeera awamu mu bufumbo. Biki ebisobola okuyamba aboogerezeganya ka babe bato oba bakulu okwewala okugwa mu bugwenyufu?—Nge 22:3.

Mulabe VIDIYO eyaggibwa mu vidiyo Okweteekerateekera Obufumbo—Ekitundu 1: Ntuuse Okwogereza oba Okwogerezebwa? Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Lwaki Abakristaayo tebasaanidde kutandika kwogerezeganya nga tebannaba kuba beetegefu kuyingira bufumbo? (Nge 13:12; Luk 14:28-30)

  • Abazadde abo bayambye batya muwala waabwe mu ngeri ennungi?

Soma Engero 28:26. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Kiki aboogerezeganya kye bayinza okukola okusobola okwewala embeera eziyinza okubaleetera okwenyigira mu bugwenyufu?

  • Lwaki kya magezi abo aboogerezeganya okwogera nga bukyali ku wa we bateekwa okukoma mu kulagaŋŋana omukwano, gamba ng’okwekwata ku mikono, oba okwenywegera?

Soma Abeefeso 5:​3, 4. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Biki abo aboogerezeganya bye balina okwewala okwogerako nga banyumya ku ssimu oba ku mikutu emigattabantu?

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) bt sul. 24 ¶1-6

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 3 n’Okusaba