Maaki 24-30
ENGERO 6
Oluyimba 11 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Biki Bye Tuyigira ku Nkuyege?
(Ddak. 10)
Bwe twetegereza enkuyege tusobola okubaako bye tuziyigirako (Nge 6:6)
Wadde ng’enkuyege tezirina mufuzi, zikola n’obunyiikivu, zikolera wamu era zeeteekerateekera ebiseera eby’omu maaso (Nge 6:7, 8; it-1-E lup. 115 ¶1-2)
Bwe tukoppa enkuyege tuganyulwa (Nge 6:9-11; w00-E 9/15 lup. 26 ¶3-4)
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
-
Nge 6:16-19—Ebibi ebyogerwako mu nnyiriri ezo bye byokka Yakuwa by’akyawa? (w00-E 9/15 lup. 27 ¶3)
-
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Nge 6:1-26 (th essomo 10)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Yita omu ku b’eŋŋanda zo eyaggwaamu amaanyi, okubaawo ku kwogera okw’enjawulo ne ku Kijjukizo. (lmd essomo 4 akatundu 3)
5. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Saba mukama wo ku mulimu olukusa osobole okubaawo ku Kijjukizo. (lmd essomo 3 akatundu 3)
6. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Yita omuntu okubaawo ku kwogera okw’enjawulo ne ku Kijjukizo. (lmd essomo 5 akatundu 3)
Oluyimba 2
7. Ebitonde Biraga nti Yakuwa Ayagala Tube Basanyufu—Ebisolo
(Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo.
Mulabe VIDIYO. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:
-
Ebisolo bituyigiriza ki ku Yakuwa?
8. Ebyetaago by’Ekibiina
(Ddak. 10)
9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 24 ¶7-12, akasanduuko ku lup. 221