Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
Ekibuuzo: Olowooza ekisuubizo kino kirituukirira?
Ekyawandiikibwa: Kub 21:3, 4
By’oyinza okwogera: Akatabo kano kannyonnyola engeri Katonda gy’ajja okutuukirizaamu ekisuubizo ekyo era n’engeri gy’oyinza okuganyulwamu.
OMUNAALA GW’OMUKUUMI (olupapula olusembayo)
Ekibuuzo: Nkusaba weetegereze ekibuuzo kino. [Musomere ekibuuzo ekisooka ku lupapula 16 n’engeri abamu gye bakiddamu.] Ggwe ekibuuzo ekyo wandikizzeemu otya?
Ekyawandiikibwa: Zb 83:18
By’oyinza okwogera: Ekitundu kino kinnyonnyola ebisingawo ebiri mu Bayibuli ebikwata ku linnya lya Katonda.
BAIBULI KY’EYIGIRIZA
Ekibuuzo: Abantu abamu balowooza nti Katonda y’afuga ensi. Naye obadde okimanyi nti Bayibuli bw’etyo si bw’eyigiriza?
Ekyawandiikibwa: 1Yo 5:19
By’oyinza okwogera: Akatabo kano kannyonnyola bulungi ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku nsonga eno n’endala nnyingi.
TEGEKA ENNYANJULA YO
Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.