Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maayi 2-8

YOBU 38-42

Maayi 2-8
  • Oluyimba 63 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Okusabira Abalala Kisanyusa Yakuwa”: (Ddak. 10)

    • Yobu 42:7, 8—Yakuwa yagamba Yobu okusabira Erifaazi, Birudaadi, ne Zofali (w13 6/15 21 ¶17; w98-E 5/1 30 ¶3-6)

    • Yobu 42:10—Yobu bwe yamala okubasabira, Yakuwa yamuwonya (w98-E 5/1 31 ¶3)

    • Yobu 42:10-17—Yakuwa yawa Yobu emikisa mingi nnyo olw’okukkiriza kwe n’olw’obugumiikiriza bwe (w94-E 11/15 20 ¶19-20)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Yobu 38:4-7—“Emmunyeenye ez’oku makya” be baani, era kiki kye tubamanyiiko? (bh 97 ¶3)

    • Yobu 42:3-5—Biki bye tuyinza okukola okusobola okulaba Katonda nga Yobu bwe yamulaba? (w15 10/15 8 ¶16-17)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?

    • Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Yobu 41:1-26

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Tegeka Ennyanjula z’Omwezi Guno: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Musseeko vidiyo eziraga buli nnyanjula, oluvannyuma muzikubaganyeeko ebirowoozo. Mu bufunze, yogera ku ebyo ebiri wansi w’omutwe “Engeri y’Okukozesaamu JW Library.Bajjukize okujjuza ku lipooti zaabwe ez’obuweereza emirundi gye baba balaze abantu vidiyo. Kubiriza ababuulizi okutegeka ennyanjula zaabwe.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 60

  • Okozesa JW Library?”: (Ddak. 15) Mu ddakiika ettaano ezisooka, mukubaganye ebirowoozo ku kitundu kino. Oluvannyuma musseeko vidiyo Tandika Okukozesa “JW Library,era mugikubaganyeeko ebirowoozo. N’oluvannyuma musseeko vidiyo eyitibwa Download and Manage Publications ne Customize the Reading Experience. Kubiriza bonna abasobola okuteeka JW Library ku masimu gaabwe oba bukompyuta bwabwe obw’omu ngalo okukikola, nga temunnakubaganya birowoozo ku kitundu ekirina omutwe, “Engeri y’Okukozesaamu JW Libraryekijja okuba mu wiiki etandika nga Maayi 16.

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) ia sul. 14 ¶14-22, eby’okulowoozaako ku lup. 124

  • Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)

  • Oluyimba 77 n’Okusaba