OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okozesa JW Library?
JW Library, ye programu ey’obwereere ekusobozesa okuwanula Bayibuli n’ebitabo ebirala, vidiyo, n’ebyokuwuliriza n’obissa ku ssimu, oba ku kompyuta.
ENGERI Y’OKUGIFUNAMU: Genda ku Intaneeti owanule JW Library okuva mu tterekero lya programu ng’ezo, oluvannyuma ogisse ku ssimu yo. Programu eyo osobola okugissa ku ssimu ez’ebika ebitali bimu. Bw’oba ng’oli ku Intaneeti, ggulawo JW Library owanule ebintu by’oyagala okussa ku ssimu yo. Bw’oba tolina Intaneeti awaka oboolyawo oyinza okugifuna ku Kizimbe ky’Obwakabaka bwe kiba kirina Intaneeti, ku kafe, oba awantu awalala wonna w’osobola okufunira Intaneeti. Bw’omala okuwanula ebitabo n’obissa ku ssimu yo oba ku ka kompyuta ko, tekikwetaagisa kuba ku Intaneeti okusobola okubikozesa. Kyokka, olw’okuba buli luvannyuma lwa kiseera ku JW Library kwongerwako ebintu ebipya, kijja kukwetaagisanga okugendanga ku Intaneeti osobole okuteekako ebintu ebipya.
WAKI WEETAAGA JW LIBRARY? JW Library ekifuula kyangu okwesomesa n’okugoberera ebiba biyigirizibwa mu nkuŋŋaana. Programu eno eyambye bangi mu kubuulira embagirawo.