OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Engeri y’Okukozesaamu JW Library
MU KWESOMESA:
-
Osobola okusomerako Bayibuli n’ekyawandiikibwa eky’olunaku
-
Soma Yearbook, magazini, n’ebitabo ebirala. Kozesa akabonero kano akalaga w’okomye okusoma (bookmark)
-
Tegeka enkuŋŋaana era osaze ne ku by’okuddamu
-
Laba vidiyo ezitali zimu
MU NKUŊŊAANA:
-
Soma ebyawandiikibwa omwogezi by’ajuliza. Bw’onyiga ku kabonero kano kakuzzaayo ku byawandiikibwa bye wasomyeko
-
Mu kifo ky’okujja n’ebitabo mu nkuŋŋaana, kozesa essimu yo oba ka kompyuta ko ak’omu ngalo okugoberera ebitundu ebiri mu nkuŋŋaana n’okuyimba ennyimba. JW Library erimu ennyimba empya ezitannaba kuteekebwa mu katabo k’ennyimba
MU BUWEEREZA:
-
Oyo gw’obuulidde baako ky’omulaga ekiri ku JW Library, era muyambe okuwanula programu eno n’ebintu ebirala abisse ku ssimu ye
-
Kozesa akabonero kano okunoonya ekyawandiikibwa ky’oyagala mu bwangu. Bw’oba olina ekigambo ky’onoonya naye nga tekiri mu Enkyusa ey’Ensi Empya, kinoonyeze mu Reference Bible ey’Olungereza
-
Laga vidiyo. Oyo gw’obuulidde bw’aba alina abaana, oyinza okubalaga emu ku buvidiyo bw’abaana obuli mu kitundu Beera Mukwano gwa Yakuwa. Oba oyinza okubalaga vidiyo Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? basobole okusikirizibwa okuyiga Bayibuli. Omuntu bw’aba ayogera olulimi olulala, mulage vidiyo eri mu lulimi lwe
-
Laga omuntu ekyawandiikibwa ng’okozesa enkyusa ya Bayibuli eri lulimi lwe. Genda ku kyawandiikibwa okoone ku lunyiriri lw’oyagala; ojja kulaba olunyiriri olwo mu Bayibuli endala