Maayi 23-29
ZABBULI 19-25
Oluyimba 116 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Obunnabbi Butuyamba Okumanya Ebikwata ku Masiya”: (Ddak. 10)
Zb 22:1—Katonda yandibadde ng’ayabulidde Masiya (w11 8/15 15 ¶16)
Zb 22:7, 8—Masiya yandisekereddwa (w11 8/15 15 ¶13)
Zb 22:18—Engoye za Masiya bandizikubidde akalulu (w11 8/15 15 ¶14)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Zb 19:14—Kya kuyiga ki kye tusobola okufuna mu lunyiriri luno? (w06 6/1 31 ¶4)
Zb 23:1, 2—Lwaki Yakuwa musumba mulungi? (w02-E 9/15 32 ¶1-2)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?
Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Zabbuli 25:1-22
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) bh—Ekyawandiikibwa kisomere ku ssimu oba ka kompyuta ak’omu ngalo.
Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) bh—Kozesa JW Library okunoonya ekyawandiikibwa ekiddamu ekibuuzo omuntu ky’abuuzizza.
Ng’Otandise Okuyigiriza Omuntu: (Ddak. 6 oba obutawera) bh 129-130 ¶11-12
—Mu bufunze, kozesa essimu oba ka kompyuta ak’omu ngalo okulaga omuyizi engeri gy’ayinza okukozesaamu JW Library okutegeka bye mugenda okuyiga.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Oluyimba 55
“Engeri y’Okukozesaamu JW Library”—Ekitundu 2: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Musseeko vidiyo Wanula Bayibuli era Ozikozese ne Noonya mu Bayibuli oba mu Bitabo. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’omutwe, “Mu Buweereza.” Saba ababuulizi boogere engeri endala gye bakozesezzaamu JW Library mu buweereza.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) ia sul. 16 ¶1-15
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 139 n’Okusaba