May 30–Jun 5
ZABBULI 26-33
Oluyimba 23 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yakuwa Ajja Kukuwa Obuvumu”: (Ddak. 10)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Zb 26:6—Okufaananako Dawudi, tuyinza tutya okwetooloola ekyoto kya Yakuwa? (w06 6/1 31 ¶7)
Zb 32:8—Ogumu ku miganyulo egiri mu kufuna amagezi agava eri Yakuwa gwe guluwa? (w09-E 6/1 5 ¶3)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?
Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Zabbuli 32:1–33:8
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) kt—Ekyawandiikibwa kisomere ku ssimu oba ka kompyuta ak’omu ngalo.
Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) Laga omuntu gw’otera okuwa magazini zaffe engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli ng’okozesa vidiyo erina omutwe, Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli? eri ku JW Library.
Ng’Otandise Okuyigiriza Omuntu: (Ddak. 6 oba obutawera) jl essomo 9—Mu bufunze, laga omuyizi engeri gy’ayinza okutegekamu enkuŋŋaana ng’akozesa JW Library.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Oluyimba 130
Ebyetaago by’ekibiina: (Ddak. 15) Oyinza okukozesa ebiri mu katabo Yearbook. (yb16-E 112-113; 135-136)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) ia sul. 16 ¶16-29, akas. ku lup. 142, ebyongerezeddwako ku lup. 144
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 16 n’Okusaba