Maayi 9-15
ZABBULI 1-10
Oluyimba 99 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Okuba mu Mirembe ne Yakuwa, Kyetaagisa Okussa Ekitiibwa mu Mwana We Yesu”: (Ddak. 10)
[Musseeko vidiyo, Okwanjula Ekitabo kya Zabbuli.]
Zb 2:1-3—Obukyayi eri Yakuwa ne Yesu bwalagulwa (w04 8/1 13-14 ¶4-8; it-1-E 507; it-2-E 386 ¶3)
Zb 2:8-12—Abo bokka abassa ekitiibwa mu Kabaka Yakuwa gwe yafukako amafuta be bajja okufuna obulamu (w04 8/1 4-5 ¶2-3)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Zabbuli 8:1–9:10
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) wp16.3 omutwe oguli kungulu—Soma ekyawandiikibwa ng’okozesa essimu oba ka kompyuta ak’omu ngalo.
Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) wp16.3 omutwe oguli kungulu—Laga eky’okulabirako nga nnyinimu agaana omubuulizi okumusomera mu Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya, naye omubuulizi akozesa JW Library eri ku ssimu ye okumusomera ekyawandiikibwa mu nkyusa ya Bayibuli endala.
Ng’Otandise Okuyigiriza Omuntu: (Ddak. 6 oba obutawera) bh 12 ¶12-13—Kubiriza omuyizi okuwanula JW Library agiteeke ku ssimu ye.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Oluyimba 138
Ennyumba ya Yakuwa Giwe Ekitiibwa: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Musseeko vidiyo erina omutwe, Beera Mukwano gwa Yakuwa—Ennyumba ya Yakuwa Giwe Ekitiibwa. (Genda ku, ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI > ABAANA.) Oluvannyuma, saba abaana abato bajje ku siteegi obabuuze ebibuuzo ebikwata ku vidiyo eyo.
Erinnya lya Katonda mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya: (Ddak. 10) Kwogera nga kwesigamiziddwa ku Ebyongerezeddwako A4 mu Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) ia sul. 15 ¶1-14, akas. ku lup. 138
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 11 n’Okusaba