Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZABBULI 1-10

Okuba mu Mirembe ne Yakuwa, Kyetaagisa Okussa Ekitiibwa mu Mwana We Yesu

Okuba mu Mirembe ne Yakuwa, Kyetaagisa Okussa Ekitiibwa mu Mwana We Yesu

Obukyayi eri Yakuwa ne Yesu bwalagulwa

2:1-3

  • Kyalagulwa nti amawanga tegandikkirizza buyinza bwa Yesu wabula gandiremedde ku buyinza bwago

  • Obunnabbi obwo bwatuukirira mu kiseera nga Yesu ali ku nsi era butuukirira ku kigero ekisingawo leero

  • Omuwandiisi wa Zabbuli agamba nti amawanga galowooza ekintu ekitaliimu, ekitegeeza nti ekigendererwa kyago tekiriimu nsa era nti tegajja kutuuka ku buwanguzi

Abo bokka abassa ekitiibwa mu Kabaka Yakuwa gwe yafukako amafuta be bajja okufuna obulamu

2:8-12

  • Abo bonna abaziyiza Kabaka Yesu bajja kuzikirizibwa

  • Abantu bwe bassa ekitiibwa mu Yesu Omwana wa Katonda bajja kufuna emirembe n’obutebenkevu