Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maayi 28–Jjuuni 3

MAKKO 13-14

Maayi 28–Jjuuni 3
  • Oluyimba 55 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Weewale Akatego k’Okutya Abantu”: (Ddak. 10)

    • Mak 14:29, 31​—Abatume tebaalina kigendererwa kya kwegaana Yesu

    • Mak 14:50​—Yesu bwe yakwatibwa, abatume bonna baamwabulira ne badduka

    • Mak 14:47, 54, 66-72​—Peetero yayoleka obuvumu n’agezaako okulwanirira Yesu era n’amugoberera ng’amwesudde akabanga, naye oluvannyuma yamwegaana emirundi esatu (ia lup. 200 ¶14; it-2-E lup. 619 ¶6)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Mak 14:51, 52​—Omuvubuka ayogerwako mu kyawandiikibwa kino eyadduka ng’ali bwereere, ayinza kuba ani? (w08 2/15 lup. 30 ¶6)

    • Mak 14:60-62​—Nsonga ki eyinza okuba nga ye yaleetera Yesu okusalawo okuddamu ekibuuzo kabona omukulu kye yamubuuza? (jy lup. 287 ¶4)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?

    • Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Mak 14:43-59

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebyo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muyite ajje mu nkuŋŋaana.

  • Okuddiŋŋana okw’Okusatu: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ekyawandiikibwa kye weerondedde, era omuwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli.

  • Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) bhs lup. 181-182 ¶17-18

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO