Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MAKKO 9-10

Okwolesebwa Okwanyweza Okukkiriza Kwabwe

Okwolesebwa Okwanyweza Okukkiriza Kwabwe

9:1-7

Teeberezaamu engeri Yesu gye yawuliramu bwe yawulira nga Kitaawe ow’omu ggulu amugamba nti amusiima. Awatali kubuusabuusa, ekyo kyanyweza Yesu n’asobola okugumira ebizibu bye yayitamu oluvannyuma. Ate era okwolesebwa okwo kwanyweza nnyo okukkiriza kwa Peetero, Yakobo, ne Yokaana. Kwabakakasiza ddala nti Yesu ye yali Masiya, era nti baali batuufu okumuwuliriza. Nga wayiseewo emyaka nga 32, Peetero yali akyajjukira okwolesebwa okwo n’engeri gye kwamuyamba okweyongera okukakasa “ekigambo ky’obunnabbi.”​—2Pe 1:16-19.

Wadde nga tetwalaba ku kwolesebwa okwo, tulaba engeri gye kutuukirizibwamu leero. Yesu afuga nga Kabaka, era mu kiseera ekitali kya wala, ajja “kumaliriza okuwangula kwe,” atereeze ensi.​—Kub 6:2.

Okulaba obunnabbi bwa Bayibuli nga butuukirira kinywezezza kitya okukkiriza kwo?