Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maayi 21-27

MAKKO 11-12

Maayi 21-27
  • Oluyimba 34 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Ataddemu Kingi Okusinga Abalala Bonna”: (Ddak. 10)

    • Mak 12:41, 42​—Yesu yalaba nnamwandu omwavu ng’asuula obusente bubiri obw’omuwendo omutono ennyo mu kasanduuko omwasuulibwanga ssente (“obusanduuko omusuulibwa ssente,” “obusente bubiri,” “obw’omuwendo omutono ennyo” awannyonnyolerwea ebiri mu Mak 12:41, 42, nwtsty)

    • Mak 12:43​—Yesu yasiima nnyo ekyo nnamwandu oyo kye yakola (w97-E 10/15 lup. 16-17 ¶16-17)

    • Mak 12:44​—Nnamwandu oyo kye yawaayo, Yakuwa yakitwala nga kya muwendo nnyo (w97-E 10/15 lup. 17 ¶17; w87-E 12/1 lup. 30 ¶1; cl lup. 185 ¶15)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Mak 11:17​—Lwaki Yesu yayita yeekaalu ‘ennyumba ey’okusabirwamu amawanga gonna’? (“nnyumba ya kusabirwamu amawanga gonna” awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 11:17, nwtsty)

    • Mak 11:27, 28​—Bakabona abakulu n’abawandiisi n’abakadde bwe baabuuza Yesu nti: “Oggya wa obuyinza okukola ebintu bino,” bintu ki bye baali bategeeza? (jy lup. 244 ¶7)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?

    • Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Mak 12:13-27

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Tandika n’ebyo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe.

  • Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebyo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Omuntu akugamba nti afiiriddwa omuntu we; laga engeri gy’oyinza okumuddamu.

  • Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 118

  • Okukkiriza Kutuyinzisa Byonna: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo.

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 21

  • Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)

  • Oluyimba 98 n’Okusaba