OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Yamba Abaana Bo Basobole Okugoberera Kristo
Tewali kisinga kuleetera bazadde Bakristaayo ssanyu ng’okulaba ng’abaana baabwe ‘bagoberera’ Yesu. (Mak 8:34; 3Yok 4) Biki abazadde bye bayinza okukola okuyamba abaana baabwe okugoberera Yesu, okwewaayo eri Yakuwa, era n’okubatizibwa? Biki ebiyinza okulaga nti omwana atuuse okubatizibwa?
Mukubaganye ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe ogugamba nti “Eri Abazadde,” ekiri ku lupapula 165-166 mu katabo Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala, nga mukozesa ebibuuzo bino: