Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yoleka Okwagala mu Maka

Yoleka Okwagala mu Maka

Okwagala ye gaamu agatta awamu ab’omu maka. Amaka bwe gatabaamu kwagala kiba kizibu okuba obumu n’okukolagana obulungi. Abaami, abakyala, n’abazadde bayinza batya okwoleka okwagala mu maka?

Omwami ayagala mukyala we, afaayo ku byetaago bya mukyala we, ku ndowooza ye, ne ku nneewulira ye. (Bef 5:28, 29) Alabirira ab’omu maka ge mu by’omubiri ne mu by’omwoyo, nga mw’otwalidde n’okuba n’Okusinza kw’Amaka obutayosa. (1Ti 5:8) Omukyala ayagala omwami we, agondera omwami we era ‘amussaamu nnyo ekitiibwa.’ (Bef 5:22, 33; 1Pe 3:1-6) Buli omu alina okuba omwetegefu okusonyiwa munne. (Bef 4:32) Abazadde abaagala abaana baabwe, bafaayo nnyo ku buli mwana waabwe era babayigiriza okwagala Yakuwa. (Ma 6:6, 7; Bef 6:4) Kusoomoozebwa ki abaana baabwe kwe boolekagana nakwo ku ssomero? Baŋŋanga batya okupikirizibwa? Okwagala bwe kuba mu maka, ab’omu maka bonna bajja kuwulira nga balina obukuumi.

MULABE VIDIYO, WEEYONGERE OKWOLEKA OKWAGALA MU MAKA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Omwami ayagala mukyala we ayinza atya okumuliisa n’okumulabirira?

  • Omukyala ayagala omwami we alaga atya nti amussaamu ekitiibwa?

  • Abazadde abaagala abaana baabwe babayigiriza batya Ekigambo kya Katonda?