BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA
Yigiriza n’Ebbugumu
Bwe twogera n’ebbugumu kireetera abatuwuliriza nabo okuba n’ebbugumu era n’okussaayo omwoyo ku ebyo bye tubabuulira. Ate era kiraga nti obubaka bwe tubuulira tubutwala nga bukulu nnyo. Ka tube nga twakulira mu mbeera ki oba nga tuli bantu ba ngeri ki, tusobola okuyigiriza n’ebbugumu. (Bar 12:11) Biki ebisobola okutuyamba?
Ekisooka, lowooza ku bukulu bw’obubaka bw’obuulira. Olina enkizo ey’okubuulira “amawulire amalungi ag’ebintu ebirungi!” (Bar 10:15) Eky’okubiri, fumiitiriza ku ngeri amawulire amalungi gye gasobola okukyusaamu obulamu bw’abo b’obuulira. Mu butuufu, beetaaga okuwulira amawulire ago amalungi. (Bar 10:13, 14) N’ekisembayo, yogera n’ebbugumu, era kozesa ebitundu byo eby’omubiri n’endabika yo ey’oku maaso mu ngeri eyoleka enneewulira gy’olina ku bubaka bw’obuulira.
MULABE VIDIYO, FUNA ESSANYU ERIVA MU KUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA NG’OLONGOOSA MU NGERI GY’OYIGIRIZAAMU—YIGIRIZA N’EBBUGUMU, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Kiki ekyaleetera Anita okulekera awo okuyigiriza omuyizi we n’ebbugumu?
-
Kiki ekyayamba Anita okuddamu okuyigiriza n’ebbugumu?
-
Lwaki tusaanidde okulowooza ku ngeri ennungi abo be tubuulira ze balina?
-
Bwe tuyigiriza n’ebbugumu kiyinza kitya okukwata ku bayizi baffe era ne ku bantu abalala?