Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yakuwa bw’Atukangavvula Kiba Kiraga nti Atwagala

Yakuwa bw’Atukangavvula Kiba Kiraga nti Atwagala

Okusingira ddala okukangavvula kuba kuwa bulagirizi n’okuyigiriza, naye era kuzingiramu okuwabula n’okubonereza. Yakuwa atukangavvula tusobole okumusinza mu ngeri gy’asiima. (Bar 12:1; Beb 12:10, 11) Ebiseera ebimu, okukangavvula kuyinza okuleeta obulumi, naye kuleetera omuntu okukola ebikolwa eby’obutuukirivu n’okufuna emikisa. (Nge 10:7) Biki abo abawa okukangavvula n’abo abakufuna bye basaanidde okulowoozaako?

Oyo awa okukangavvula. Abakadde, abazadde, n’abalala bafuba nnyo okuwa okukangavvula mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala nga Yakuwa bw’akola. (Yer 46:28) N’okukangavvula okw’amaanyi kusaanidde okuweebwa okusinziira ku bwetaavu obuliwo era mu ngeri ey’okwagala.​—Tit 1:13.

Oyo aweebwa okukangavvula. Okukangavvula ka kube nga kuze mu ngeri ki, tetusaanidde kukugaana, wabula tusaanidde okufuba okukukolerako amangu ddala. (Nge 3:11, 12) Olw’okuba tetutuukiridde, ffenna twetaaga okukangavvulwa, era okukangavvula kuyinza okutuweebwa mu ngeri ez’enjawulo. Tuyinza okufuna okukangavvula okuva mu ebyo bye tuba tusomye mu Bayibuli oba ebyo bye tuba tuwulidde mu nkuŋŋaana. Ate oluusi abamu bayinza okuba nga beetaaga okukangavvulwa akakiiko akalamuzi. Bwe tukolera ku kukangavvula okuba kutuweereddwa tuba tujja kufuna obulamu.​—Nge 10:17.

MULABE VIDIYO, “ABO YAKUWA B’AYAGALA B’AKANGAVVULA,” OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Obulamu bwa Canon bwali butya ng’akyali muto, era bwakyuka butya?

  • Kukangavvula ki kwe yafuna okuva eri Yakuwa?

  • Yiga okwagala okukangavvula okuva eri Yakuwa

    Ekyokulabirako kye kituyigiriza ki?