OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Sigala nga Weetegese mu Nnaku Ezisembayo ‘ez’Ennaku ez’Enkomerero’
Nga tuli mu nnaku ezisembayo ‘ez’ennaku ez’enkomerero,’ tusuubira ebizibu eby’amaanyi okweyongera. (2Ti 3:1; nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 24:8) Bwe wagwawo akatyabaga, abantu ba Yakuwa bafuna obulagirizi mu kiseera ekituufu obubayamba okuwonyaawo obulamu. Okusobola okuwonawo nga waguddewo akatyabaga, tulina okwetegeka kati mu by’omwoyo ne mu by’omubiri.—Luk 16:10.
-
Weeteeketeeke mu by’omwoyo: Beera n’enteekateeka ennungi. Yiga engeri ez’enjawulo ez’okubuulira. Bwe weesanga nga tosobola kuwuliziganya na baluganda balala, totya. (Is 30:15) Yakuwa ne Yesu baba bali wamu naawe.—od lup. 176 ¶15-17
-
Weeteeketeeke mu by’omubiri: Ng’oggyeeko okuba n’ensawo erimu ebintu eby’okukozesa, buli maka gasaanidde okubaako n’emmere, amazzi, eddagala, n’ebintu ebirala bye gaterese eby’okukozesa bwe kiba kyetaagisa okuba mu kifo ekimu okumala ekiseera.—Nge 22:3; g17.5 lup. 4, 6
MULABE VIDIYO, WEETEGEKEDDE AKATYABAGA? OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Okuba abanywevu mu by’omwoyo kiyinza kitya okutuyamba nga waguddewo akatyabaga?
-
Lwaki tusaanidde . . .
-
okuba n’empuliziganya ennungi n’abakadde?
-
okuteekateeka by’onookozesa ng’akatyabaga kaguddewo?
-
okumanya obutyabaga obw’enjawulo obuyinza okugwawo era n’eky’okukola mu buli mbeera?
-
-
Bintu ki ebisatu bye tusobola okukola okuyamba abo abakoseddwa obutyabaga?
WEEBUUZE, ‘Bwe kituuka ku kweteekateeka biki bye nnyinza okuyigira ku kirwadde kya COVID-19?’