OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Kozesa Ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Okuyamba Abantu Okukkiririza mu Yakuwa ne Yesu
Okusobola okusanyusa Katonda, abayizi ba Bayibuli balina okufuna okukkiriza okw’amaanyi. (Beb 11:6) Tusobola okubayamba okufuna okukkiriza okwo nga tukozesa ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Ekitabo ekyo kirimu ebyawandiikibwa, okunnyonnyola okutegeerekeka obulungi, ebibuuzo ebituuka ku mutima gw’omuntu, vidiyo ezikwata ku muntu, n’ebifaananyi ebirungi. Bwe tuyamba abayizi ba Bayibuli okukulaakulanya engeri z’Ekikristaayo n’okufuna enkolagana ne Katonda, tuba tuzimbisa ebintu ebitayonoonebwa muliro.—1Ko 3:12-15.
Abantu abamu kibazibuwalira okukitegeera nti basobola okufuna omukwano ne Katonda gwe batasobola kulaba. N’olwekyo, tulina okubayamba okumanya Yakuwa n’okumwesiga.
MULABE VIDIYO YAMBA ABALALA OKUKKIRIRIZA MU YAKUWA NG’OKOZESA EKITABO “NYUMIRWA OBULAMU EMIREMBE GYONNA!” OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
-
Kiki ekiraga nti mwannyinaffe yeeteekeddeteekedde bulungi okuyigiriza omuyizi we?
-
Akozesezza atya obulungi ebibuuzo okusobola okuyamba omuyizi we okufumiitiriza ku Isaaya 41:10, 13?
-
Vidiyo n’ebyawandiikibwa bikutte bitya ku muyizi?
Abantu bangi tebategeera kinunulo, oba tebakitwala ng’ekirabo Katonda kye yabawa kinnoomu. (Bag 2:20) N’olwekyo, tulina okubayamba okukkiririza mu kinunulo kya Yesu.
MULABE VIDIYO YAMBA ABALALA OKUKKIRIRIZA MU YESU NG’OKOZESA EKITABO “NYUMIRWA OBULAMU EMIREMBE GYONNA!” OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
-
Kiki ekiraga nti ow’oluganda oyo yeeteekeddeteekedde bulungi okuyigiriza omuyizi we?
-
Akozesezza atya obulungi ebyo ebiri mu kitundu “Laba Ebisingawo” okuyamba omuyizi we?
-
Lwaki okusaba kikulu nnyo eri omuyizi wa Bayibuli?