Jjuuni 6-12
2 SAMWIRI 9-10
Oluyimba 124 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Dawudi Yalaga Okwagala Okutajjulukuka”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
2Sa 10:4, 5—Lwaki ekyo Kanuni kye yakola kyali kibi nnyo eri abasajja Abayisirayiri? (it-1-E lup. 266)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) 2Sa 9:1-13 (th essomo 12)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa emu ku nsonga abantu ze batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 3)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muwe brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! era mu bufunze mulage ekitundu “Engeri gy’Oyinza Okuganyulwa mu Bujjuvu mu Masomo Gano.” (th essomo 17)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5) lff essomo 05 akatundu 4 (th essomo 13)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Jjukira Engeri Okwagala Gye Kweyisaamu—Kwa Kisa: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo. Oluvannyuma buuza abawuliriza ebibuuzo bino: Dawudi yalaga atya Mefibosesi ekisa? Tuyinza tutya okulaga abalala ekisa n’okwagala okutajjulukuka?
Ebikolebwa Ekibiina: (Ddak. 10) Mulabe vidiyo, Ebikolebwa Ekibiina eya Jjuuni.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 07
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 1 n’Okusaba