OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Okwagala . . . Kusuubira Ebintu Byonna”
Olw’okuba twagala baganda baffe, tubasuubiramu ebirungi. (1Ko 13:4, 7) Ng’ekyokulabirako, mukkiriza munnaffe bw’akola ekibi eky’amaanyi n’akangavvulwa, tuba n’essuubi nti ajja kukolera ku bulagirizi obuba bumuweereddwa. Tugumiikiriza bakkiriza bannaffe abatali banywevu mu kukkiriza, era tufuba okubayamba. (Bar 15:1) Omuntu bw’agobebwa mu kibiina, tusigala tulina essuubi nti luliba olwo n’akomawo.—Luk 15:17, 18.
MULABE VIDIYO JJUKIRA ENGERI OKWAGALA GYE KWEYISAAMU—KUSUUBIRA EBINTU BYONNA, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
-
Mu kusooka ani Abuneeri gwe yali awagira, ate oluvannyuma ani gwe yatandika okuwagira?
-
Dawudi yatwala atya ekyo Abuneeri kye yasaba, ate ye Yowaabu yakitwala atya?
-
Lwaki bakkiriza bannaffe tusaanidde okubasuubiramu ebirungi?