Maayi 2-8
1 SAMWIRI 27-29
Oluyimba 71 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Enteekateeka ya Dawudi ey’Olutalo”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
1Sa 28:15—Ku luno ani Sawulo gwe yayogera naye? (w10 7/1 lup. 22 ¶5-6)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) 1Sa 27:1-12 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Omulundi Ogusooka: Okubonaabona—Yak 1:13. Muyimirize vidiyo buli awali akabonero ak’okugiyimiriza era obuuze ebibuuzo ebiragiddwa mu vidiyo.
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 1)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 5) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muwe brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, era obe ng’amulaga vidiyo Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? (th essomo 6)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okusigala nga Tuli Banywevu nga Tuyigganyizibwa: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino: Kiki kye tuyigira ku baganda baffe abaaliwo mu kiseera ky’obufuzi bw’Abanazi mu Bugirimaani? Kiki kye tuyigira ku baganda baffe ab’omu Russia abaaliwo mu kiseera ky’obufuzi bwa Soviet Union?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 02
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 94 n’Okusaba