Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Weeteekeddeteekedde Obutabanguko Obuyinza Okubaawo mu Kitundu Kyammwe?

Weeteekeddeteekedde Obutabanguko Obuyinza Okubaawo mu Kitundu Kyammwe?

Ng’enkomerero egenda esembera, tusuubira obutabanguko, ebikolwa bya bannalukalala, n’entalo okweyongera. (Kub 6:4) Tuyinza tutya okweteekerateekera ebintu ebyo?

  • Weeteeketeeke mu by’omwoyo: Manya emisingi gya Bayibuli n’ebintu ebyogerwako mu Bayibuli ebisobola okukuyamba okweyongera okwesiga Yakuwa n’ekibiina kye, era ebisobola okukuyamba okusigala nga tolina ludda lw’owagira. (Nge 12:5; jr 125-126 ¶23-24) Kino kye kiseera okwongera okunyweza enkolagana yo ne bakkiriza banno mu kibiina.​—1Pe 4:7, 8

  • Weeteeketeeke mu by’omubiri: Manya wa w’oyinza okuddukira ng’embeera etabuse, era teekateeka ebintu by’osobola okukozesa ng’odduse. Manya wa w’oyinza okuyita ng’odduka okuva mu kitundu w’obeera. Ddamu otunule mu bintu bye wateeka mu nsawo ebisobola okukuyamba, era oyongeramu ebintu ebirala by’osobola okweyambisa, gamba nga masiki, giraavu, n’essente. Manya engeri gy’oyinza okuwuliziganyaamu n’abakadde, era fuba okukakasa nti bamanya engeri gye bayinza okukutuukako oba okukuwuliza.​—Is 32:2; g17.5 3-7

Ng’obutabanguko butandise, Nywerera ku nteekateeka yo ey’eby’omwoyo. (Baf 1:10) Weewale okutambulatambula okuggyako nga ddala kyetaagisa. (Mat 10:16) Gabana n’abalala emmere n’ebintu ebirala by’olina.​—Bar 12:13.

MULABE VIDIYO WEETEGEKEDDE AKATYABAGA? OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:

  • Yakuwa atuyamba atya mu kiseera nga waguddewo akatyabaga?

  • Biki bye tusaanidde okukola okusobola okweteekateeka?

  • Tuyinza tutya okuyamba abalala ababa bakoseddwa obutyabaga?