OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Bw’Oba Obuulira Yogera ku Bintu Ebyakabaawo mu Kitundu Kyammwe
Yesu bwe yalinga abuulira, yayogeranga ku bintu ebyabanga byakabaawo okusobola okubaako by’ayigiriza abaalinga bamuwuliriza. (Luk 13:1-5) Naawe bw’oba obuulira oyinza okwogera ku bintu ebyakabaawo okusobola okuleetera abantu okuwuliriza obubaka bw’Obwakabaka. Oluvannyuma lw’okwogera ku bbeeyi y’ebintu eyeekanamye, ku katyabaga akaaguddewo, ku butabanguko, ku kukozesa ebiragalalagala, oba ku kintu ekirala, osobola okubuuza omuntu ekibuuzo ekinaamuleetera okuwa endowooza ye. Oyinza okumubuuza nti: “Olowooza ekiseera kirituuka ne waba nga tewakyaliwo . . . ?” oba “Olowooza kiki ekiyinza okumalawo . . . ?” Oluvannyuma musomere ekyawandiikibwa ekikwata ku nsonga gy’oba oyogeddeko. Bw’aba ng’ayagala okumanya ebisingawo, mulage vidiyo oba muwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. Nga tufuba okutuuka ku mitima gy’abantu mu kitundu kyaffe, ka ‘tukole ebintu byonna olw’amawulire amalungi.’—1Ko 9:22, 23.
Bintu ki ebiyinza okukwata ku bantu b’omu kitundu kyammwe?