EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yakuwa Akola Endagaano ne Dawudi
Yakuwa yasuubiza Dawudi obufuzi obw’ensikirano (2Sa 7:11, 12, obugambo obuli wansi; w10 4/1 lup. 20 ¶3; Laba ekifaananyi ekiri kungulu)
Ebimu ku ebyo ebyali bizingirwa mu ndagaano Yakuwa gye yakola ne Dawudi byatuukirira ku Masiya (2Sa 7:13, 14; Beb 1:5; w10 4/1 lup. 20 ¶4)
Ebintu ebirungi Masiya by’ajja okukola mu bufuzi bwe bijja kubaawo emirembe gyonna (2Sa 7:15, 16; Beb 1:8; w14 10/15 lup. 10 ¶14)
Enjuba n’omwezi bitujjukiza nti Obufuzi bwa Masiya bujja kuba bwa nkalakkalira. (Zb 89:35-37) Buli lw’obitunuulira, lowooza ku mikisa Yakuwa gy’akusuubizza awamu n’ab’omu maka go okuyitira mu Bwakabaka bwe.