Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Weekuume Bakyewaggula

Weekuume Bakyewaggula

Sitaani n’abo baakozesa bagatta eby’obulimba mu mazima nga baagala okunafuya okukkiriza kwaffe. (2Ko 11:3) Ng’ekyokulabirako, Abaasuli baayogera ebintu ebyalimu amazima n’obulimba okumalamu abantu ba Yakuwa amaanyi. (2By 32:10-15) Ne leero bakyewaggula bwe batyo bwe bakola. Twanditutte tutya enjigiriza za bakyewaggula? Tusaanidde okuzitwala ng’ez’obulabe, kubanga ddala za bulabe! Tetusaanidde kusoma bintu byabwe, kwogera nabo, oba okwogera ku njigiriza zaabwe. Weewale obubaka obusobola okukuleetera okulekera awo okwesiga Yakuwa n’ekibiina kye!—Yud 3, 4.

MULABE EKITUNDU EKYAGGIBWA MU VIDIYO ‘MULWANIRIRE NNYO OKUKKIRIZA’!, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:

  • Lwaki tusaanidde okwegendereza nga waliwo abakubaganya ebirowoozo ku nsonga ezikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa ku Intaneeti?

  • Tuyinza tutya okukolera ku magezi agali mu Abaruumi 16:17?