Jjuuni 19-25
2 EBYOMUMIREMBE 34-36
Oluyimba 97 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Oganyulwa mu Bujjuvu mu Kigambo kya Katonda?”:(Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo:(Ddak. 10)
2By 35:20-23—Kiki kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku Kabaka Yosiya eyali omulungi?(w17.03 lup. 27 ¶15-17)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) 2By 35:1-14 (th essomo 2)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Tandika n’ebyo ebiri mu kitundu Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muwe brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! era mu bufunze mwogera ku biri wansi w’omutwe, “Engeri gy’Oyinza Okuganyulwa mu Masomo Gano.” (th essomo 7)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 3) Tandika n’ebyo ebiri mu kitundu Bye Tuyinza Okwogerako. Mubuulire ebikwata ku mukutu gwaffe, era omuwe kkaadi eragirira abantu ku mukutu jw.org. (th essomo 11)
Okwogera: (Ddak. 5) w17.09 lup. 25-26 ¶7-10—Omutwe: Okukozesa Amaanyi Agali mu Kigambo kya Katonda ng’Obuulira. (th essomo 14)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Okozesa Bulungi Bayibuli ey’Okuwuliriza Eri ku Mukutu?”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 48 akatundu 5 ne mu bufunze, okwejjukanya, ne eky’okukolako
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 117 n’Okusaba