Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Funa Essanyu mu Kutandika Okunyumya n’Abantu

Funa Essanyu mu Kutandika Okunyumya n’Abantu

Okubuulira embagirawo y’emu ku ngeri ennungi ennyo ey’okubuuliramu abantu. Kyokka tuyinza okutya okutandika okunyumya n’abantu bwe tulowooza ku ngeri gye tunaabalagamu ekyo Bayibuli ky’egamba. Mu kifo ky’okweraliikirira ebyo by’onooyogera ng’obabuulira, lowooza ku ngeri gy’oyinza okubalaga nti obafaako. (Mat 22:39; Baf 2:4) Bw’oba onyumya n’omuntu n’ofuna akakisa okwogera ku ebyo ebiri mu Bayibuli, waliwo ebintu bingi ebisobola okukuyamba.

Ebintu bino wammanga biyinza bitya okukuyamba okuwa obujulirwa okusinziira ku ekyo kye muba mwogerako ng’onyumya n’omuntu?

MULABE VIDIYO EKYUMA KIWAGALA KYUMA’—OKUTANDIKA OKUNYUMYA N’OMUNTU, OLUVANNYUMA MUDDEMU EKIBUUZO KINO:

Bintu ki ebisatu ebisobola okutuyamba okulongoosa mu ngeri gye tunyumyamu n’abantu?