Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Weetunuulire nga Yakuwa bw’Akutunuulira

Weetunuulire nga Yakuwa bw’Akutunuulira

“Yakuwa asanyukira abantu be.” (Zb 149:4) Wadde nga tetuukiridde, Yakuwa alaba engeri ennungi ze tulina awamu n’ebyo bye tusobola okukola. Kyokka oluusi kiyinza okutuzibuwalira okwetunuulira nga Yakuwa bw’atutunuulira. Tuyinza okuwulira ng’abatalina mugaso olw’engeri abalala gye batuyisaamu. Oba ebirowoozo bwe tubissa ku nsobi ze twakola emabega, tuyinza okubuusabuusa obanga ddala Yakuwa atwagala. Kiki ekiyinza okutuyamba bwe tuba n’enneewulira ng’eyo?

Kijjukire nti Yakuwa alaba ekyo abantu kye batasobola kulaba. (1Sa 16:7) Ekyo kitegeeza nti alaba n’ekyo kye tutasobola kwerabamu. Bwe tusoma Bayibuli tusobola okumanya engeri Yakuwa gy’atutunuuliramu. Bayibuli erimu ebyawandiikibwa n’ebyokulabirako ebiraga engeri Yakuwa gy’afaayo ku baweereza be.

MULABE VIDIYO KAKASA OMUTIMA GWO NTI YAKUWA AKWAGALA, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:

  • Ekyokulabirako ky’omuddusi ne kitaawe kituyigiriza ki ku ngeri Yakuwa gy’atutunuuliramu?

  • Omuntu bw’akola ekibi eky’amaanyi naye n’abaako ky’akolawo okuzzaawo enkolagana ye ne Yakuwa, ayinza atya okukakasa omutima gwe nti Yakuwa yamusonyiwa?—1Yo 3:19, 20

  • Ow’oluganda yaganyulwa atya mu kusoma n’okufumiitiriza ku kyokulabirako kya Dawudi ne Yekosafaati?